Luke 9:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bali bwe baali bava w'ali, Petero n'agamba Yezu nti: “Muyigiriza, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti, “ Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya;” Yali nga tamanyi ky'ayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya; nga tamanyi ky'ayogera.