Luke 9:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi lyagenda okusirika, nga Yezu yekka y'aliwo. Bo ne basirika; mu nnaku ezo ebyo bye baalaba ne wataba gwe baabibuulirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eddoboozi eryo bwe lyamala okwogera, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, mu ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eddoboozi eryo bwe lyajja, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba.