Luke 9:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'aleekaana okuva mu kibiina ng'agamba nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, tunuulira mutabani wange; ono ye muzaale yekka gwe nnina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, omusajja eyali mu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti, “ Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, omuntu ow'omu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu: