Luke 9:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gumukwata, amangu ago n'awowoggana; ne gumusambagaza, n'abimba ejjovu; gumuta na buwaze, ate gumumenyaamenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba, amangwago n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba amangu ago; n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo.