Luke 9:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ayanukula, n'agamba nti: “Owa ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Kale mutabani wo muleete wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Leeta wano omwana wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? leeta wano omwana wo.