Luke 9:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali asembera, omwoyo omubi ne gumutaagulataagula ne gumusambagaza. Naye Yezu n'akabukira omwoyo omugwagwa, omulenzi n'amuwonya, n'amuddiza kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omulenzi bwe yali ng'ajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni, n'awonya omulenzi n'amuddiza kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo yali ng'akyajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni n'awonya omulenzi n'amuzza eri kitaawe.