Luke 9:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne beewuunya obukulu bwa Katonda. Bonna baali bakyewuunya byonna by'akola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda. Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti