Luke 9:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebigambo bino biyingire mu matu gaamwe: kubanga Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebigambo bino mubiwulirize n'obwegendereza: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ebyo mubisse mu matu gammwe: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.