Luke 9:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne batategeera kigambo ekyo; kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera; ate baali batya okumubuuza ku kigambo ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, kubanga kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera: ate ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, era kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera: ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri.