Luke 9:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo enkaayana ne zisituka mu bo ku ani asinga obukulu mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wabaawo okuwakana mu bo nga beebuuza ani asinga obukulu mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wabaawo okuwakana mu bo aliba omukulu mu bo bw'ali.