Luke 9:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana omuto ono, mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, aba ayanirizza oli eyantuma. Kubanga asinga obutene mu mmwe mwenna, y'asinga obukulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “ Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.