Luke 9:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna n'ayanukula nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza; kubanga yali tayita naffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'addamu n'agamba nti, “ Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo, ne tumugaana, kubanga tayita naffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana n'addamu n'agamba nti Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo: ne tumugaana, kubanga tayita naffe.