Luke 9:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna gye bagaananga okubaaniriza, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa gyebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa eri bo.