Luke 9:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'amugamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'amugamba nti, “ Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'amugamba nti Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.