Luke 9:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanna, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti, “ Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize, nga Eriya bwe yakola?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti Mukama waffe, oyagala ndagire omuliro guve mu ggulu okubazikiriza, nga Eriya bwe yakola?