Luke 9:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “ Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.