Luke 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bagenda, ne bayitaayita mu bibuga nga bayigiriza Evangili n'okuwonya buli wantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira Enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo.