Luke 9:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Mpaawo oyo akwata ku nkumbi erima n'akebuka mabega asaanidde bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'amugamba nti, “ Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula emabega asaanira obwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'amugamba nti Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula ennyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda.