Luke 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Erode omufuzi atwala ekitundu n'awulira byonna ebyakolebwa, n'asoberwa, kubanga abamu baagambanga nti Yowanna Batista azuukidde mu bafu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'asoberwa nnyo kubanga abantu baagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'abuusabuusa nnyo kubanga abantu baagamba nti Yokaana azuukidde mu bafu;