Luke 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abalala nti Eliya alabise, ate abandi nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abalala nti, “Eriya yali alabise,” n’abalala nti, “Omu ku bannabbi ab’edda azuukidde mu bafu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abalala nti, “Eriya alabise,” n'abalala nti, “Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abalala nti Eriya alabise; n'abalala nti Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde.