Malachi 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva enjuba lw'evaayo okutuusa lw'egwa erinnya lyange kkulu mu mawanga, ne mu buli kifo obubaani n'ebitone ebitukuvu biweerezebwa erinnya lyange, kubanga erinnya lyange kkulu mu mawanga, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu; kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, abantu banzisaamu ekitiibwa. Wonna wonna bannyookereza obubaane, era bampa ebitambiro ebirongoofu. Bonna banzisaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye.