Malachi 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye mmwe mulyonoona nga mugamba nti: ‘Emmeeza y'Omukama nnyonoonefu, n'emmere yaakwo enyoomebwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mulivumisa, kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ne mmere ye, enyoomebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe munnyooma, bwe mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'emmere yaakwo si ya kitiibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe mulivumisa kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ye mmere ye, teriimu ka buntu.