Malachi 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mugamba nti: ‘Kuno kukabiriza!’ Ne mugyenyinyimbwa, Omukama w'Amagye y'agamba. Muddira ensolo ennyage, ennema n'endwadde ne muzireeta ng'ebitone. Nze nsiime ezo okuva mu ngalo zammwe? Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! Era munsoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo, nnandikkiriza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.