Malachi 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Avumirirwe oyo omukumpanya, alina mu ggana lye ennume ekkirizibwa, eyeeyama okugiwa, naye n'atambiriramu Omukama eriko ebbala. Kubanga nze ndi kabaka mukulu, Omukama w'Amagye y'agamba, n'erinnya lyange lya ntiisa mu mawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema, kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo omukumpanya, eyeeyama okumpa ennume ye ennungi gy'alina mu kisibo kye, ate n'antambirira ennema, akolimirwe, kubanga nze ndi Kabaka mukulu, era abantu ab'omu mawanga gonna bantya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.