Malachi 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nabaagala, Omukama y'agamba, naye mmwe mubuuza nti ‘Watwagala otya?’ Ezawu teyali muganda wa Yakobo? Omukama y'agamba. Naye Yakobo namwagala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nabaagala,” bw’ayogera Mukama. “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nnabaagala,” bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti, “Watwagala otya?” “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” Bw'ayogera Mukama, “Era naye nnamwagala Yakobo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu be nti: “Nabaagala. Naye ne mugamba nti: ‘Watwagala otya?’ Esawu ne Yakobo baali baaluganda. Naye nayagala Yakobo, Amo 1:11-12; Ob 1-14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo;