Malachi 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Edomu bw'agamba nti: ‘Tukubiddwa, naye tunaakomawo ne tuzimba ebyazikirizibwa,’ naye ye Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Baleke bazimbe naye nze nzija kumenyawo. Banaayitibwanga 'Nsi Mbi', 'Eggwanga Omukama ly'Asunguwalidde Emirembe gyonna'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.” Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Edomu ayogera nti, “Tukubiddwa, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika;” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Bo balizimba, naye nze ndyabya, era abantu banaabayitanga nti Nsi ya bubi, era nti bantu Mukama banyiigira ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa bazzukulu ba Edomu bagamba nti: “Ebibuga byaffe bizikiriziddwa, naye tujja kubizimba buggya,” Mukama Nnannyinimagye ajja kugamba nti: “Ka bazimbe, naye nja kubimenyawo. Banaayitibwanga ‘Eggwanga erikola ebibi’, era ‘Abantu Mukama b'asunguwalira ennaku zonna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Edomu ayogera nti Tukubiddwa wansi, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika; bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu banaabayitanga nti Nsalo ya bubi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira ennaku zonna.