Malachi 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza akissaamu mukama we. Oba nze kitammwe, ekitiibwa kyange kiruwa? Oba ndi mukama, obukulu bwange buluwa? Omukama w'Amagye y'agamba. Mmwe bakabona mmwe munyooma erinnya lyange. Naye mubuuza nti: ‘Erinnya lyo tulinyoomye tutya?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we, kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa?” Era oba nga ndi mukama, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ayi mmwe bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti, “Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama kitammwe okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?