Malachi 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muweereza ku mwaliiro gwange emmere ennyonoonefu. Era mubuuza nti: ‘Twakwonoona tutya?’ Bwe mugamba nti ‘Emmeeza y'Omukama enyoomebwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese. “Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ “Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti,‘Twakwonoona tutya?’ Nga mulowooza nti, Emmeeza ya Mukama eyinza okunyoomebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munnyoomye, kubanga muwaddeyo ku alutaari yange emigaati egyonoonese. Era mubuuza nti: ‘Tugyonoonye tutya?’ Mugyonoonye, kubanga mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama si ya kitiibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti Twakwonoona tutya? Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu.