Malachi 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muleeta ebisolo ebizibe by'amaaso bitambirwe, ekyo si kikyamu? Bwe muweereza ebisolo ebirema n'ebirwadde, ekyo si kikyamu? Mubiweereze owessaza wammwe mulabe! Anaabasiima? Anaabasanyukira? Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe muwaayo ensolo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, obwo si bubi! Era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, obwo nabwo si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? Oba anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye.