Malachi 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kale nno muwanjagire Katonda ow'ekisa atusaasire!’ N'ebyo ebitone ebifaanana bityo mu ngalo zammwe anaabaako n'omu mu mmwe gw'asanyukira? Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale nno mbeegayiridde, musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa. Ng'olina ekirabo bw'ekityo mungalo zo, anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mmwe bakabona, musabe Katonda atukwatirwe ekisa, kubanga mmwe mwavaako omutawaana. Waliwo ku mmwe gw'anaasiima?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mbeegayiridde musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabaawo ku bwammwe: waliwo ku mmwe gw'anakkirizaako amaaso ge? bw'ayogera Mukama w’eggye.