Malachi 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffenna kitaffe si ye omu? Katonda si ye omu eyatutonda? Lwaki tumenya endagaano ya bajjajjaffe nga buli omu amenya obwesigwa eri munne?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki tetuli ba mazima buli muntu eri muganda we, nga twonoona endagaano, ya bajjajjaffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffenna tetulina kitaffe omu? Katonda tali omu eyatutonda? Kale lwaki tuba abakuusa eri bannaffe? Era lwaki tunyooma endagaano, Katonda gye yakola ne bajjajjaffe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe?