Malachi 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda tabadde mwesigwa; ekyenyinyalwa kyakolebwa mu Yisirayeli ne mu Yeruzaalemu, kubanga Yuda yayonoona Ekiggwa ky'Omukama ky'ayagala, bwe yawasa muwala wa lubaale omugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda si wa mazima, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi; kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya bafuuse bakuusa, ne bakola ekyenyinyalwa mu Yerusaalemu ne mu Yisirayeli yonna. Boonoonye Essinzizo lya Mukama ly'ayagala. Bawasizza abakazi abasinza balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.