Malachi 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akutule ku weema za Yakobo ne ku abo abaweereza ebitone Omukama w'Amagye buli muntu yenna awa obujulizi obusemba oyo akoze kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama azikirize okuva mu weema ya Yakobo, omusajja akola bw'atyo, yenna awa obujulizi, oba addamu, oba awaayo ekiweebwayo eri Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli musajja eyakola ekyo, Mukama amuggye mu Bayisirayeli, era aleme kumukkiriza kuddamu kwetaba wamu na ba ggwanga lyaffe nga batonera Mukama Nnannyinimagye ebirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akola bw'atyo Mukama alimuzikiririza oyo azuukuka n'oyo ayitaba, okuva mu weema za Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo, eri Mukama w'eggye: