Malachi 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kino mukikola: Omwaliiro gw'Omukama mugujjuzizza amaziga; mukaaba ne mukuba ebiwoobe kubanga takyafaayo ku bitambiro byammwe, yadde okubikkiriza n'essanyu okuva mu ngalo zammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era na kino nakyo mukikola, mubikka ekyoto kya Mukama n'amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, kubanga n'okussaayo takyassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo, wadde okukkiriza mu mukono gwammwe kye mumuleetera ng'asiimye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekirala kye mukola kye kino: alutaari ya Mukama mugitobya amaziga, nga mukaaba era nga mukuba ebiwoobe, kubanga Mukama takyasiima bye mumuleetera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye.