Malachi 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubuuza nti: “Lwaki?” Kubanga Omukama ye yali omujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow'obuvubuka bwo, naye gw'otaalaga bwesigwa, sso nga ye munno, ye mukazi wo ow'endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwebuuza nti, “Lwaki?” Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwebuuza ekimugaana okubisiima. Tabisiima, kubanga mumenyeewo endagaano ey'obufumbo gye mwakola n'abakazi be mwawasa mu buvubuka bwammwe. Be bannammwe be mwakola nabo endagaano nga Mukama ye mujulirwa, naye ne mutaba beesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.