Malachi 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyakola omubiri gumu n'aguwa n'omwoyo gwagwo? Omu oyo anoonya ki? Ezzadde okuva ewa Katonda. Kale nno weekuume; leka kumenya bwesigwa na mukazi ow'obuvubuka bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era teyakola omu? Newakubadde nga yalina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda teyatonda omuntu ng'alina omubiri n'omwoyo ogw'obulamu? Ky'ayagala kwe kumuzaalira abaana abamutya. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa eri omukazi gwe yawasa mu buvubuka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era teyakola omu? newakubadde ng'alina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.