Malachi 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkyayira ddala abafumbo okwawukana, Omukama Katonda wa Yisirayeli y'agamba, n'omuntu okubikka ekyambalo kye n'obukambwe, Omukama w'Amagye y'agamba.” Kale nno weekuume oleme kumenya bwesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.