Malachi 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama mumukooyezza n'ebigambo byammwe. Mubuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Bwe mugamba nti: “Bonna abakola ekibi balungi mu maaso g'Omukama, era naye abasanyukira,” oba nti: “Katonda alamuza obwenkanya aluwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe. Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?” Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti, “Twamukooya tutya?” Kubanga mwogera nti, “Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira;” oba nga mwebuuza nti, “Katonda omwenkanya ali ludda wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukooyezza Mukama n'ebigambo bye mwogera. Naye mwebuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Mumukooyezza nga mugamba nti: “Buli akola ebibi, aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira.” Oba nga mwebuuza nti: “Katonda omwenkanya ali ludda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa?