Malachi 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe eno: nzija kukoma ku bitone byammwe, mmette amaaso gammwe n'obusa, obusa bw'ebitone byammwe, mbaggye mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndinenya abaana bammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza abaana bammwe, era ndisiiga mu maaso gammwe obusa bw'ensolo ze mutambidde, ne muggyibwawo wamu nabwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndinenya ensigo ku lwammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe,obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.