Malachi 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endagaano yange yali naye, endagaano y'obulamu n'eddembe; ebyo nabimuwa alyoke anziseemu ekitiibwa. Yampa ekitiibwa n'erinnya lyange n'alitya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endagaano yange naye, yabanga ndagaano ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu ndagaano yange, nabasuubiza okubawa obulamu n'emirembe. Era nabibawa balyoke banzisengamu ekitiibwa. Mu biro ebyo, banzisangamu ekitiibwa era bantyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.