Malachi 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka ery'amazima lyamuli mu kamwa era tewali bugwenyufu bwasangibwa ku mimwa gye; yatambulanga nange mu ddembe ne mu butuufu, bangi yabaggya mu bugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuyigiriza okw'amazima kwabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gyabwe. Yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baayigirizanga bituufu sso si bikyamu. Baabeeranga wamu nange mu ddembe, nga ba mpisa nnungi, era baalesangayo bangi okukola ebibi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Etteeka ery'amazima lyabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.