Malachi 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga emimwa gya kabona gyandikuumye okumanya, n'etteeka abantu bandirinoonyerezza mu kamwe ke, kubanga ye mubaka w'Omukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era abantu bandinoonyeza okuyigirizibwa okuva mu kamwa ke, kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mulimu gwa bakabona okuyigiriza abantu bammanye. Era abantu bandigenzenga gye bali okuyiga bye njagala bakole, kubanga be babaka ba Mukama Nnannyinimagye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.