Malachi 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe muvudde mu kkubo, muleetedde bangi okwesittala n'etteeka lyammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'agamba Omukama w'amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mukyuse mukyamye muvudde mu kkubo; mwesittazizza bangi olw'okuyigiriza kwammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe bakabona, muvudde mu kkubo ettuufu ne muwaba. Bye muyigiriza bireetedde bangi okukola ebikyamu. Mumenya endagaano gye nakola nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe mukyuse mukyamye mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.