Malachi 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange kyennava mbafuula ekitagasa ne mbatoowaza mu maaso g'abantu bonna, kubanga temwakwata makubo gange, ne mwekubiira mu ngeri gye mwakwatamu etteeka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa, abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, kubanga mufubye obutakwata makubo gange, naye ne mulaga obutali bwenkanya mu kuyigiriza kwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde mbafuula aba wansi era abanyoomebwa mu bantu bonna, kubanga temukola bye mbalagira, era bwe muba muyigiriza abantu bange, mukozesa kusosola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka.