Malachi 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Laba, ntuma omubaka wange ategeke ekkubo mu maaso gange; amangu ago Omukama gwe munoonya ajja kujja mu Kiggwa, omubaka ow'endagaano gwe mwesunga ajja kujja, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange, era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka we gwe musanyukira, laba, ajja,” bw'ayogera Mukama w'eggye
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Nja kutuma omubaka wange okunjerulira ekkubo, era Mukama gwe munoonya, alijja mu Ssinzizo lye nga tebamanyiridde. N'omubaka gwe mulindirira, alijja n'alangirira endagaano yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye.