Malachi 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyekkumi kyonna mukireete mu ggwanika mu nnyumba yange mubeeremu emmere. Mungeze mu kino, Omukama w'Amagye y'agamba, mulabe oba siibasumululire ebiyiriro by'eggulu mbayiire emikisa gibooge n'okubooga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, mulabe oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleete ebitundu eby'ekkumi ebijjuvu mu ggwanika ly'Essinzizo lyange, libeeremu emmere nnyingi. Mungeze mulabe oba nga siribaggulirawo ggulu, ne mbayiwako emikisa mingi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.