Malachi 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mubuuza nti: ‘Biki bye tukwogeddeko?’ Anti mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda temuli kantu! Mugaso ki gwe tuggya mu kukwata by'akuutira ne mu kukunkuna ng'abakungubaga mu maaso g'Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwayogera nti, ‘Okuweereza Katonda kwa bwereere, era kigasa ki okukwata ebyo bye yatukuutira, n'okutambula nga abakungubaga mu maaso ga Mukama w'eggye?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda tekigasa. Kigasa ki okukola by'alagira, oba okulaga Mukama Nnannyinimagye nti tunakuwadde?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde?