Malachi 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati twesiimisa abeekuza; abakozi b'obubi bibagendera bulungi, ate ne bwe bageza Katonda tebabaako kantu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano ab'amalala be tuyita ab'omukisa; weewaawo, abo abakola obubi tebakoma ku kuba bulungi kwokka; naye bwe bakema Katonda bawonyezebwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano abo abeekulumbaza be tuyita ab'omukisa. Aboonoonyi tebakoma ku kya ku beera bulungi kyokka, naye era bakema Katonda ne batabonerezebwa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, bo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa.