Malachi 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abatya Omukama ne boogeraganya, Omukama n'ategereza, n'awulira; ekitabo eky'ekijjukizo ne kiwandiikibwa mu maaso ge ku abo abatya Omukama n'abalowooza ku linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo abatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka; Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abatya Mukama era ne balowooza erinnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu abatya Mukama banyumiza wamu, Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera. Mu maaso ge ne wabaawo ekitabo ekyawandiikibwa okujjukirirako abo abamutya, era abamussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinya lye.