Malachi 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ani aligumira olunaku lw'amatuuka ge? Bw'alirabika ani aliyimirirawo? Anti aliba ng'omuliro gw'omukenenuzi oba nga ssabbuuni w'omwozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw'alirabika? Kubanga aliŋŋaanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ani aliyinza okugumira olunaku lw'alijjirako? Era bw'alirabika, ani aliguma okuyimirira? Kubanga ali ng'omuliro ogutukuza ebyuma, era nga sabbuuni gwe boozesa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi: